Politics

Temutambuliza baana bato abasoma ku Bodaboda-Poliisi erabudde abazadde

Nga olunaku olwaleero amasomero gazeemu okusomesa mu lusoma olusembayo olumalako omwaka poliisi y’ebidduka evudeyo n’ebiragiro ebirina okugobererwa kumakubo.

Bano bakubirizza abazadde okusooka okwekeneenya engeri abaana babwe jebagendamu ku masomero nga abaana abali wansi w’emyaka 12 bagaanidwa okutuula ku pikipiki boka nga era bano balina okubeera n’ebikofiira “helmenti” ebyokumitwe.

Okusinziira ku ayogerera police yebidduka mu ggwanga Micheal Kananula kino bakikoze okusobola okwewala obubenje kumakubo .

Era ono agenze mumaaso nawabula nemotoka ezitikka akabindo abaana nti anakwatibwako wakuvunaanibwa .

Bya Bulyaba Hamidah

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *