LocalPolitics

Visa ya Sipiika Among eya America bagisazizaamu lwakuyisa tteeka erikugira obufumbo bw’ebikukujju.

Emberenge etandise okugagira Uganda oluvanyuma lw’abangereza nabamerica okutandika okusibira Uganda ekikokolo nga batandise nakusazaamu Visa z’abanene mu gavumenti ngera batandikidde ku Sipiika wa palamenti Annet Anita Among nga kino kyandiba nga kyekuusa mukwenyigira mukuyisa etteeka erikugira omukwano ogw’ebikukujju erya Anti Homosexuality Act 2023 eritereddwako omukono omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni enkya yaleero.

Bino byogeddwa omubaka wa Bugiri municipality Asuman Basalirwa mu lukungaana lwabannamawulire lwatuuzizza ku Palamenti, nasomera bannamawulire obubaka obwatereddwa ku Email ya Sipiika okuva mu America ne Britain nga egaana speaker Among okuddamu okugenda munsi ya America era bwatakyakirizibwa nakufuna Visa yabwe.

Olunaku olwaleero omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni atadde omukono kubbago lya Anti Homosexuality Bill 2023 elyayisibwa Palamenti omwezi oguwedde Oluvanyuma lwomukulembeze w’eggwanga okulikomyawo eri Palamenti okusobola okulikolamu enongosereza.

Kati Basalirwa bano abasekeredde okubeera abatiitiizi olwokusazaamu visa ya Sipiika waabwe yekka nabajjukiza nti n’omukulembezze w’eggwanga bandibadde basazaamu visa kuba yeyataddeko omukono.
Ono agamba newewanabaawo agenda mu kooti tatidde era agya kudda mu Palamenti alikomyeewo.

Basalirwa era ategeezezza nti ensonga yokukendeeza obuyambi bwebabadde bawa Uganda bwekitagenda kubayigula ttama wabula neyebaza omukulembeze weggwanga Yoweri Kaguta Museveni olwobuteetiririra wabula nasalawo okussa omukono kutteeka lino era nabaako amagezi gawadde okukyuusa obuufu bekwaate ensi zebuwarabu.

Basarirwa bwavudde wano nawabula bannayuganda abalina ebyobugagga n’ensimbi munsi zabazungu okuzijjayo amangu kyagambye nti abazungu beeweze okwejjako bannayuganda bonna nokukolagana nabo olw’ensonga y’ekisiyaga.

Basalirwa ayongedde okunyonyola kubuwayiro obuli mutteeka lino era nasaba banayuganda okwewala okumenya obuwayilo buno kyagambye nti amateeka gajjakubakangavvula kuba kati lyafuuse tteeka.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *