Politics

Dr. Hafiz Walusimbi asibidde abageda okukola ebibuuzo entanda.

Nga Abayizi ba S.4 Ne S.6 mu ggwanga betegekera okutuula ebigezo byabwe ebyakamalirizo, bakubiriziddwa okussa obwesige bwonna mu Allah wamu n’okunyiikira okumusaba ennyo basobole okutuuka kubuwanguzi.

Obubaka buno abayizi bubawereddwa akulira Sharia mu yafeesi ya Supreme Mufuti e’Kibuli Dr. Abdul Hafiz Walusimbi bwabadde omugenyi omukulu kusomero lya Mbogo High School Kawempe Tula kumukolo ogutegekeddwa okusabira abayizi ba S. 4 ne S. 6 abasoba mu 322 abanaatera okutandika ebigezo byabwe ebyakamalirizo. Eduwa ekulembeddwamu Sheik Hassan Mutyaba.

Abayizi ba S4 bakutandika ebigezo byabwe n’okubulirirwa nga 13/10/2023 olwo kubbalaza nga 16/10/2023 batandike okuwandiika ebigezo byabwe okumala omwezi gumu ate aba S6 bakutandika n’okubulirwa nga 10/11/2023 olwo kubbalaza nga 13/11/2023 batandiike okuwandika ebigezo byabwe mubutongole okumala nabo ebbanga lyamwezi mulamba.

Dr Hafiz walusimbi asiimye nnyo abatandisi bamasomero ga Mbogo schools nasaba abazadde okufaayo ennyo kubaana babwe naddala abawala olw’ensonga nti bayita mukusoomozebwa okutagambika. Asabye abazadde okuwa enyo enkizo abaana abawala. Asabye abagenda okutuula ebigezo byabwe okwekwata Allah mubuli kimu basobole okuwagula mubulamu bwensi eno. Asabye abazadde okuteekateeka obulungi abaana babwe abawala kubanga be bamaama ab’enkya.

Omukulu wesomero lino elya mbogo high school e Tula Hajjat Maka Zainab Kakeeto asiimye nnyo abazadde ababasaamu obwesige okubawa abana abawala. Agambye nti abayizi babwe babateeseteese bulungi nga bulijjo era balina esuubi mu Allah nti bajja kuyita bulungi nga bwebazze bakola emyaka gyonna.

Bya Ismail Tenywa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *