Islamic

Abasiraamu mubeere begendereza ate abakwata mpola.

Abasiramu basabiddwa okubeera abegendereza era abakwata mpola mubuli kimu kibayambeko okutuuka kunkulakulana eyanamaddala.

Omulanga guno abasiramu gubakubiddwa district kadhi wa Kayunga Bugerere Dr Hafiz Muhammad Haruna Bukenya bwabadde agulawo omuzikiti gwa masjid sulaiman kukyalo Namirembe mu gombolola y’eBukamba mu Kayunga Muslim district.

Omuzikiti guno guzimbiddwa ekitongole kya Black Ban Uk trust nga wano mu uganda kikulilwa Hajji Twaha Muluya. Sheik Bukenya agambye nti ekitundu kino kibadde n’obwetavu bw’omuzikiti olw’ensonga nti gwegusoose okuzimbibwa mu kitundu kino. Asabaye abasiramu b’ekitundu kye Namirembe Kayunga okukozesa obulungi omuzikiti guno nga basomesezamu abasiraamu ediini,Quraan wamu nokugattiramu abasiraamu b’ekitundu kino sikutematema mubasiramu. Ono abasabye okubeera abawulize eri ababakulembera kumitendera gyonna.

Dr Hafiz Bukenya takomye okwo asabye abantu bonna okukwasizaako police mukulwanyisa obumenyi bw’amateeka obweyongedde omuli ettemu nebirala. Agambye nti kino bwekinakolebwa kijja kutebekenza ebintundu abantu mwebawangaalira. Abakuutidde okuloopa abamenyi bamateeka mubakuuma ddembe okusobola okendeeza obuzzi bw’emisango.

Bya Tenywa Ismail

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *