Education

Abayizi abagenda okwegatta kumatendekero agaawaggulu basabiddwa okweyisa obulungi wamu n’okubeera abayiiya ennyo.

Abayizi naddala abawala abagenda okwegatta kumatendekero agawaggulu basabiddwa okweyisa obulungi wamu n’okubeera abayiiya ennyo munsi eno ejudde okuvuganya okwamanyi. Omulanga guno gubakubiddwa omukulu w’essomero lya’abaana abawala erya Mbogo high school Kawempe Tula eliri wansi wamasomero ga Mbogo Schools Hajjat Zainab Maka Kakeeto kumukolo gw’okwebaza Allah olw’okuyisa obulungi abayizi ba S. 6 wamu n’okuwa ebilabo abayizi abasukulumye kubanaabwe wamu nabasomesa abakola omulimu gw’okubangula abayizi bano.

Hajjat Zainab agambye nti abaana naddala abawala bafuna okusomozebwa nga bakegatta kumatendekero gano wabula nabasaba okukuma ensa nenono y’eddini y’obusiramu wamu n’ekitiibwa ky’omwana omuwala.

Esomero lya Mbogo High school e Kawempe Tula bayiisiza abayizi bonna era abamu kubayizi abasinze banabwe ku Mbogo High school Tula kuliko Rashida Mariam abadde wa Pem19,Agasha Shamim Salimah 19,kwagala Racheal 19 nebagoberwa abalala.

Hajjat Maka agambye nti ku Mbogo high school omulamwa kwebatambuliza ebyensoma kwekutendeka abayiizi abatya katonda,abayiya,abekiririzamu,abagala okusoma wamu n,okubeera abakozi.

hajjat Zainab Maka Kakeeto asiimye nnyo abayizi bano abakoze obulungi neyabaza Allah olwekkula lyabawa buli mwaka okuyisa obulungi abayiizi bonna. Asiimye abatandiisi bamasomero ga Mbogo schools omuli Hajjat Zauja Ndifuna Matovu, Dr Ibrahim Matovu, hajji Lulagala Mawazi ne Sheik Damulira Abdul Noor olwetofali lyebagase kubyenjigiriza bya Uganda.

Bya Ismail Kabangala

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *