Food & Health

Tetugenda kukiriza mmere nkolerere. Ababaka basimbye ekkuuli.

Bannakyewa abalafubana okulaba nga abantu bafuna emmere etuukanye nomutindo nga bali wamu n’ababaka ba palamenti belayidde obutakkiriza kuno mmere sako ne bilime ebikolerere ebimanyiddwa nga genetically modified organisms (GMOs) olwebizibu enkumu byezirina eri abantu nobutonde bwensi.

Ababaka kino baakukituukako nga baleèta etteeka mu lukiiko lwegwanga erikugira ebintu ebikolere mu uganda era nasaaba sipika wolukiiko lweggwanga Annet anita Among okubawa omwaganya basobole okwanja etteka lino.

Mulukungaana lwabannawulire lwebatuuzizza ku palamenti bano nga
bakulembeddwamu omubaka wa Bufumbira East okuva mu district ye Kisolo era ssentebe wakakiko ka palamenti akakwasisa empisa nobuntu bulamu ka parliamentary forum on ethics and integrity hon. James Nsaba Buturo bagamba nti emmere eno enkolere abazungu bateekamu amanyi gaabwè ejje mu Africa olwebigendererwa byabwe èbitali birungi eri ssemazinga Africa.

Wano webasinzidde okusaba abakulembeze ba amawanga gà Africa obutakkiriza mmere eno( GMOs) mu mawanga gaabwe no lwankubade nga eggwanga lya south Africa lyo lyabalyamu da olukwe.

Omubaka Nsaba Buturo atubulide akabi akali mu GMOs omuli okusanyaawo ensigo ko nemmere yaffe ennansi nga buli season omulimi aba ateekwa okugula ensigo ekitegeeza nti singa zikkirizibwà okulya kwa abaddugavu kujja kuba kusigadde mu mikono gyabazungu.

Omubaka omukyala owa District ye kiboga era minister oweekisiikirize avunanyizibwa ku butonde bwensi hon. Christine Nakimwero akinoganyiza nti emmere eno weetandikira okulimwa wano obutonde bwensi sibwakulutonda ekiteeka obulamu bwaffe mu matigga.

Bo bannakyewa nga bakulembeddwamu Onen Moses okuva mu basiimye amanyi ababaka gebataddemu okulwanyisa emmere eno obutakkirizibwa kuno omuli nekyokuleeta etteeka erikugira emmere eno olwakabi akagirimu eri obutonde, obuwangwa ate nobulamu.

Ku mawanga amakumi 54 agakola ssemazinga wa Africa
amawanga 4 geegakakkiriza emmere eno kyokka nago kyegaasuubira sikyegafunye mu kukkiriza emmere eno.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *