Politics

Abayizi bakubiriziddwa obutefumbiza

Abayizi abawerera ddala emitwalo 749347 bebagenda okukola ebigezo eby’akamalirizo eby’ekibiina eky’omusanvu ebitandise nokubuulirwa olunaku olwaleero.

Olunaku olwenkya bakutandika okuwandiika ebigezo bino mu butongole nga batandika n’okubala kumakya olw’eggulo bakole Social Studies ate enkeera kulwokuna bakeerere mu Science bawunzike n’olulimi olungereza.

Abayizi bano nga batandika ebigezo bino bakalatiddwa okubeera abakkiriza n’okwejjamu okutya bekwate ku Allah abawanguze. Okusinzira ku ssabawandiisi w’ekitongole ky’ebigezo by’eddini muggwanga ekya Islamic primary leaving examinations board okuva kukitebe ky’obusiramu ekya Kampala mukadde sheik Ismail Kazibwe Kitiibwa asinzidde kusomero lya Lufuka Islamic Primary School mu Ggombolola ya Makindye Ssabagabo mu district ya Wakiso nga abaayo betegekera okutuula eby’ekyomusanvu. Akalatidde abayizi bano okola emikwano egy’omugaso ejitabajje kumulamwa.

Omukulu w’esomero lya Lufuka Islamic primary school Ssabasomesa Hajji Umar Ddimba okwewala abayinza okubabuzabuza okukopa ebibuuzo kubanga bakukifuuwa nga bakizza munda. Asibiridde abaana abawala entanda ey’obutefumbiza basigale mumisomo kubanga tebalina webatuuse wadde kukyokusoma ate era okusoma tekukoma.

Akalatidde abazadde obutamanyiiza baana ssente kubanga zibaviriddeko okuyiga emize. Abayizi abawerera ddala 183 bebatuulidde ebigezo kusomero lino erya Lufuka Islamic primary school.

Bya Ismail Tenywa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *