Politics

Akakiiko keby’okulonda gavumenti ekaleke ketengerere-Kyagulanyi Ssentamu

Omukulembeze w’ekibiina kya National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu agamba nti singa eby’okulonda by’eggwanga Uganda tebiweebwa mwagaanya kwetengerera nebisigala nga bitambulira ku ntoli za bakulembeze enkyukakakyuuka ey’omuggundu gye balwanirira mu Uganda Ssiyakubaawo.

Bino Kyagulanyi abyogedde bwabadde aggulawo olusirika lw’ebibiina ebiri ku ludda oluvuganya gavumenti olugenda maaso e munyonyo ku Resort hotel nga luno lugendereddwamu okukungaanya ebirowoozo by’okukola enoongosereza ezirina okukolebwa mu Ssemateeka wa Uganda n’aateeka okutambulira eby’okulonda mu ggwanga mwategeerezza nti bannayuganda kyebalwanirira kwe kubeera mu ggwanga eritaliimu ali waggulu w’amateeka nga bakuumibwa n’ebyabwe so ssi bitongole ebikuuma ddembe ebyandibakuumye ate okubamalako eddembe mu nsi yabwe nga geegakulemberamu n’okulonda.

Kyagulanyi era ategeezezza nga bannayuganda bwebayaayanira eggwanga eritaliimu bantu bali waggulu w’amateeka nga nennonda abalamuzi gye balondebwamu Kyagulanyi agamba esaana ekyusibwe okusobola okuba n’eggwanga eritambulira ku mazima n’obwenkanya.

Akulira oludda oluwabula gavumenti mu Palamenti Mathias Mpuuga Nsamba agamba enfuga okutambulira amateeka etaaguddwataaguddwa kko ne Ssemateeka,nga kati kaweefube wabwe gwebaliko wewookutereeza byonna ebyonooneddwa.

Olukungaana luno lwetabyemu abakulembeze abenjawulo okuva
ba mu bibiina ebivuganya gavumenti kko naababikulembera okuli Gen Mugisha Muntu, Jimmy Akena, Asuman Basalirwa nabalala.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *