Islamic

District Kadhi wa Kayunga Dr. Bukenya aguddewo omuzikiti.

District Kadhi wa Kayunga Dr. Muhammad Haruna Bukenya aguddewo omuzikiti e’Galilaya.

District Kadhi wa Kayunga Muslim district council Dr Hafidhu Muhammad Haruna Bukenya asabye abasiramu okwagalana n’okubeera obumu okusobola okutuuka kunkulakulana.

Dr Hafidhu Bukenya okwongera bino asinzidde mukugulawo Omuzikiti wamu Ne Nayikondo y’amazzi kukyaalo Katayiggwa mu gombolola y’eGalilaya okuliraana omugga Kyoga mu district gyakulembera eya Kayunga.

Sheik Bukenya agambye nti abantu okuwangana ekitiibwa buli wamu kyekimu kubinatutuusa kubuwanguzi n’enkulakulana esaanidde.

Dr Bukenya agambye nti akyagenda mumaaso n’okusakira abantu b’ekayunga mungeri y’okwekulakulanya era mukiseera kino mu gombolola eno Galilaya emizikiti ejisoba mu 15 gyegizimbibwa era bakaggulawo egiri eyo mu 5. Dr Bukenya agambye nti abantu be Galilaya betaavu nnyo mu nsonga y’okufuna emizikiti, amasomero wamu n’amazzi amayonjo nasaba abalina obusobozi okuddukirira kubantu bano kubanga obwetaavu bukyaali bungi ddala.

Sheik Bukenya akalatidde abasiramu okuwa abakulembeze ekitiibwa n’okwaniriza program za government ezikulakulanya obusiramu. Asabidde eggwanga lya sudan Allah okilivunusa entalo nedduka-dduka aliyo.

Bya Ismail Tenywa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *