Politics

Obuwunga n’engano ya Supreme kati byakutundibwa kukatale k’ensi yona.

Libadde sanyu gyereere olunaku olwaleero kampuni eya Mandela Millers eri wansi wa Mandela group of companies abakola obuwunga n’engano ya Supreme nga baweebwa olukusa okutunda obuwunga saako n’engano okwetoloola ensi yona, oluvanyuma lwokutuukiriza, nokukakasibwa okwekenenyezebwa n’okulondoolwa ekitongole ekivunanyizibwa ku mutindo gw’ebyamaguzi wano mu ggwanga ekya UNBS.

Bwabadde abakwasa certificate eno eya ISO 22000 munteekateeka ya Food Safety Management System, Patricia Bageine amyuka akulira ekitongole kya UNBS mu Uganda, akakasiza nga akawunga n’engano ebikolebwa aba Mandela Millers bwebituukirizza n’okuyita mumitendera gyona okusobola okutunda eby’okulya bino mukatale k’ensi yona kuba kino tebamaze gabawa lukusa luno, naye bamaze kwekeneenya nebakakasa nti bagwanidde.

oplus_2

Hon. Ssendawula Gerald kulwa Mandela Millers yebazizza nnyo UNBS okulaba ekituufu mu bbo, era nga ye kampuni ekola obuwunga n’engano esoose okutuuka ku kkula lino mu Uganda, nakakasa abakozesa akawunga n’engano ya Supreme okubeera abagumu nti bafuna ekyo eky’omutindo ogusinga.

Ate akulira eby’okwekebejja omutindo mu Mandela Millers Sam Musyoka agambye nti kino kiviira ddala kubuyonjo, ekifo, abakozi okutuuka ku buwunga n’engano nga buli kimu bamala kukyekeneenya okutuuka kumuntu agenda okulya akawunga oba okozesa engano yabwe.

oplus_2

Omukolo guno gubadde ku kkolero lya Mandela Millers e’Busega nga gwetabiddwako abakungu n’abantu abenjawulo abaddewo okujagulizaako aba Supreme okukutuuka ku mutendera guno ogw’ensi yona.

oplus_0

Bya Ssali Nasif

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *