Politics

One Ummah eduukiridde abe Karamoja n’emmere saako obujanjabi.

Ekitongole ky’obwanakyewa ekya One Ummah Uganda ekikulirwa Hajjat Shania Kigozi (Mother of Orphans) kiduukiridde abantu ba Karamoja abali eyo mu 1000 n’ebintu ebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo omuli emmere n’obujanjabi obwobwerere.

Abantu abasoba mu 1000 buli omu awereddwa ekitereke ekirimu ebintu ebigabiddwa omuli emmere y’omuceere,akawunga,butto,sukaali,sabuuni,amakoloni,engano,omunnyo,sanitary pads eziddamu nezikozesebwa wamu n’ebiyambako abakyala mukuzaala (mama kits) n’ebirala.

Aba One Ummah Uganda bakubye olusiisira lw’ebyobulamu mu district y’eNapak n’ebitundu bya Karamoja ebirala mwebajanjabidde endwadde ezenjawulo mu bantu kubwerere. Bano era bagabye n’obugaali bw’abalema n’abakadde bubayambeko muntambula.

Guno sigwemulundi ogusose bano okuduukirira abantu be Karamoja bazze bakikola enfunda eziwera ne mu bitundu ebirala nga Busoga,Ankole,Buganda ne mumambuka. Karamoja kyekimu kubitundu ebisinga okubamu enjala eyamanyi olw’embeera y’obudde gyebalina nga ebiseera ebisinga musana gwegusinga okubookya.

Hajjat Shania Kigozi akulira One Ummah mu Uganda anyonyodde nti bakebedde abantu endwadde ezenjawulo wamu nokubawa obujanjabi kubwerere wakati mukuyambako government abantu okubeera mubulamu obulungi obweyagaza.

Asabye abalina obusobozi bulijjo okuduukiriranga abetaavu olw’ensonga bangi abasula enjala olwokubulwa eky’okulya. Agambye nti nga One Ummah bakusigala nga bayambako abantu okubeera mumbeera ennungi nasaba abantu okubawagira n’okubasabira ennyo kubanga bayita oluusi mukusomozebwa okutagambika okukola emirimu gino.

Bya Tenywa Ismail

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *