EducationPolitics

Palamenti eyingidde mu nsonga z’ebisiyaga mu masomero

Akakiiko ka Palamenti ak’ebyenjigiriza kalagiddwa okunoonyereza ku bigambibwa nti waliwo amasomero mu ggwanga lino agalimu omuze gw’abaana okweyagala nga bakikula kimu.

Bwabadde aggulawo olutuula lwa palamenti Omumyuka wa sipiika wa palamenti Thomas Tayebwa agambye nti kimalamu amaanyi okukimanya nti agamu ku masomero agali mu bifo eby’oku ntikko golesezza ebikolwa by’ebisiyaga era abayizi nabazadde babonaabona mu kasirise.

Yye omubaka wa Kilak South County, Hon Olanya Gilbert agamba nti , abazadde bangi beeraliikirivu n’olwekyo akakiiko kalina okuyita abajulizi nga bakola okunoonyereza kuno.

Yye hon Chalse Bakabulindi nga Ono yakikilira abakozi abagambye nti ensonga eno yetaaga okuddamu okwetegereza ebitongole ebigabirizi byobuyambi kubanga oyinza okusanga nga bano Balina abasomesa bebakolagana nabo.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *