Politics

Sipiika agobye alipoota ku ttemu eryakoleddwa ku bayizi e’Kasese

Speaker wa palamenti Anitah Annet Among agobye alipoota ebadde ereteddwa minister omubeezi owamatenddekero agawaggulu Hon. JC Muyingo ekwata kubulumbaganyi obwakolebwa kubayizi ku somero lya Lhubiriha secondary school erisangibwa e’Kasese okukakana nga abayizzi 45 batiddwa atte abalala nebabuzibwawo nga abandi bakyapookya nabisago.

Kino kidiridde omubaka wa Kira municipality Ssemujju Nganda mu lutuula lwa palamenti olw’olunaku lwa leero okwemulugunyiza palamenti nga bwekitali kyabwerufu minisita Muyingo okwetikka obuvunanyizibwa obwandibadde bugwa mu bitongole byokwerinda kuba ekyakolebwa e’Kasese ebyavirako n’okufa kwabantu nga tewari nsonga atte lwaki minisitule y’ebyenjigiriza yeeba ereeta alipoota kubulumbaganyi.

Mukusooka ssabaminisita Robinah Nabanjja Musafili bwabadde aweereddwa ekyaanya okuleeta alipota ku nsonga eno, ategezezza palamenti nga minisita JC Muyingo bweyetisse obubaka bwa gavumenti obunnyonyola byona ebyabadde e’Kasese newankubadde nga kino tekimatizza abamu kubabaka nga owa kira Ssemujju Nganda nga agamba Ono kyakola tekikolebwa mumateeka kuba tekigwa mu minisituleye.

Wano Speaker wa palamenti wasinzidde nategeeza nga ekyogeddwa omubaka Ssemujju bwekiri ekyenkizo era bwatyo nalagira ministry evunayizibwa kunsonga z’ebyokwerinda okulabikako olunaku olwenkya ne alipoota enambulukufu ekwata kubulumbaganyi obwakolebwa kubayizzi e’Kasese.

Wabula Ono era avumiridde ekikolwa ekyakoleddwa e’Kasese nasaba abakuuma ddembe okuva mukuliisa empiso ebijanjaalo wabula bakole ekisoboka okulabanga bakuuma obutebenkevu mu ggwanga.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *